Tulina okweebaza Ssaabassajja olw’okutongoza Essaza lye erye Ssesaafirika era n’okutuwereza Kattikiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga okututtikula ettoffaali. KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asiimye Bannayuganda ababeera e South Africa olw’okuba abakozi n'akubiriza okugenda mu maaso n’okukola ennyo olwo ssente ze bafiisizzaawo baziweereze e Uganda zikole emirimu gy’enkulaakulana.
Obubaka buno yabutisse Omulangira Crispin Kiweewa Jjunju yabusomedde Bannayuganda ababeera mu ssaza lya Gauteng abakung’aanidde mu Johannesburg City Hall.
“Tusiima emirimu emirungi gye tuwulira gye mukola era tubakubirza okugenda mu maaso okukola ennyo musobole okweyimirizaawo ate bwe muba mulina ke mufisizzaawo mukaweereze eka kayambeko mu by'enkulaakulana y'ensi yaffe,” Omulangira Jjunju bwe yasomye.
E Johannesburg Katikkiro Charles Peter Mayiga gye yakomekerezza olugendo olwa wiiki ebbiri lw’abaddeko n’abakungu abalala wamu n'abaana b'Engoma (Omulangira Jjunju ne Nnaalinya Victoria Nkinzi) ng'asisinkana n’okutuusa obubaka bwa Ssaabasajja eri abantu be mu South Africa ne Swaziland gye yasooka.
​
Yonna Katikkiro gy’abadde atuuka nga bamuwa ettoffaali. E Johannesburg we yasinze okufuna ssente obukadde 28 era eno abaayo baabadde ng’abali mu kuvuganya abavubuka ba Rich Ganga nga bakulembeddwamu omugagga omuto Ivan Ssemwanga ne Edward Cheune bwe baalaze obuwagizi obwamaanyi nga bawaayo ssente za South Africa (R50,000) mu za Uganda 13,501,484/- ne bagattako ne tuleera ya seminti ku zino abalala kwe baayongereza.
Swaziland yakung'aanya obukadde14, East London bukadde 11, Cape Town bukadde10. Wonna omugatte yakung’anyiza ettoffaali lya bukadde 63 mu lugendo luno.
​
Emikolo emirala Katikkiro gy'akoze e South Africa kwe kuyingiza ababaka ba Kabaka mu kitundu kino okuli Dr. Kibuuka Lumu nga yatwala South Africa n’abamyuka be okuli atwala North West Cape, Ssaalongo Mukasa Bukenya, Polof. Vincent Kakembo atwala Eastern Cape. Omubaka w’e Swaziland ye Paul Mulindwa ng’amyukibwa Lawrence Caesar Mutyaba.