News
Omulangira Ssemakookiro abatiziddwa
By Dickson Kulumba
Added 21st August 2017
KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II atutte Omulangira Richard Ssemakookiro mu Lutikko e Namirembe n’abatizibwa era ekkanisa n’ekola omukolo gw’okussaako Omumbejja Katrina Sarah Ssangalyambogo emikono.
Kabaka, Nnabagereka ne Ssemakokiro ku mukolo gw’Ekisaakate gye buvuddeko.
Kabaka ng’ali ne Nnabagereka Sylivia Nagginda baatuuse e Namirembe ku ssaawa mwenda n’eddakiika 45 ne baanirizibwa Omulabirizi w’e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira.
Omukolo gwakoleddwa mu kkanisa entono eri ku Lutikko eyitibwa ‘Hannington Chapel’ nga Bp. Luwalira yabadde ayambibwako Can. Benon Kityo ssaako Viika wa Lutikko eno Festo Kalungi.
We zaaweredde essaawa 11 n’eddakiika 45 olweggulo, omukolo gwabadde gumaliriziddwa.
Ng’oggyeeko Ssemakookiro, Abalongo Jasmine Babirye ne Jade Nakato abatera okuba ne Ssemakokiro ssaako mukwano gwa Ssangalyambogo Susan Bwami Kaweesa nabo babatiziddwa.
Mu ngeri y’emu Bwami Kaweesa, naye yassiddwaako emikono. Ssemakookiro yazaalibwa July 2011 mu ddwaaliro e Nsambya amawulire agaasanyusa Obuganda.
Yalagibwa mu butongole eri Obuganda nga August,10, 2015 ku mukolo gwa Bulungibwansi ogwali ku mbuga y’essaza ly’e Busiro e Sentema.
Omulangira Chrispin Jjunju Kiweewa ne Nnaalinya Lubuga Dr. Christine Nabaloga be beeyimiridde Ssemakookiro ng’atandika olugendo lwe, olw’Omukrisitaayo omujjuvu. Omukolo guno gwabadde gwa kyama.
Okubatiza kuno kwetabiddwaako Namasole Margaret Siwoza, Omulangira David Namugala, Omulangira David Kintu Wasajja, bakadde ba Nnabagereka, Abambejja abenjawulo, Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda Nelson Kawalya era nga ye Mukubiriza w’Abakrisitaayo e Namirembe, Muky. Joyce Mpanga, Omuzaana Nankya n’abalala bangi.
Kabaka ne Nnabagereka oluvannyuma baayolekedde Olubiri e Kireka awaategekeddwa embaga okwagabuliddwa abagenyi abayite. Jjunju ye yatuusizza obubaka bwa Kabaka obw’okusiima abagenyi be okujja mu bungi okwetaba ku mukolo guno nga Kazanyirizi Kenneth Kimuli amanyiddwa nga Pablo ye yabadde kalabaalaba w’embaga eno eyakoleddwa.
Events
“A people's relationship to their heritage is the same as the relationship of a child to its mother”
September is the South Africa Heritage Month. This year we shall celebrate it by having a “Heritage Day Luncheon and Disco Bonanza”.
Baana ba Kintu South Africa invites all Ugandans and friends of Buganda to come and we celebrate Heritage Day together. This will take place on 23rd September 2017 at Lulli Lulli Restaurant in Pretoria.
Lots of fun and our residence Dj, Dj Daddycool Vj Rayz will be entertaining us.
The event is for the whole family, it will start at midday until late. The Ugandan delicacies buffet will be served; R100 per adult and R50 per child.
You are all welcome to join us. Come one, Come all!
For more information, contact those numbers on the flyer.
Ow’Essaza Dr. D. K Lumu wamu ne Chairman Baana ba Kintu South Africa, Dr. B. Lubega, n’essanyu eringi, bayita BanaUganda wamu n’abo abagaliza Buganda ebirungi, okubaawo ku kukuza olunaku lwa Heritage Day e Pretoria.
Bino bijjakubaawo nga 23rd September 2017 awo ku Lulli Lulli Restaurant.
​
Okuyingira: Sikwakusasulira
Essaawa: Okutandika Ssaawa Mukaaga ez’emisana
Enyambala: Yakinnansi