top of page
Wano nga bali mu studio ya BBS TV
Abaganda ababeera e South Africa bakyaddeko ku Bulange nebaleeta ettoffaali erisobye mu bukadde mukaaga (6m).
Omumyuka wa Katikkiro asooka era nga ye minisita w'ensonga za Buganda yebweru Amb. Emmanuel Ssendaula abatikkudde ettoffaali.
Oluvannyuma Ssentebe wa Buganda Twezimbe John Fred Kiyimba Freeman abalambuzza studio ne office za BBS TV nebasiima enteekateeka ennungi bwetyo.
​
Ettoffaali lino eryasigalira nga Kattikiro Charles Peter Mayiga abakyalidde e South Africa, lyava mu Province ye Eastern Cape ate eddala lyava mu Dr Fred Kasirye abeera e Pretoria.
bottom of page