Kabaka ayagalizza Abasiraamu Iddi
KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II yeegayiridde Katonda amalewo obugulumbo, obutakkaanya n'emirerembe ebiri mu Busiraamu mu ggwanga ensangi zino.
Bino biri mu bubaka bwe obwa Iddi eri Abasiramu ba Uganda obwafulumiziddwa olunaku lw'eggulo bwatyo ne yeebaza bonna abatuukirizza ekiragiro ky'okusiiba n'okusala ebisolo era n'asaba Katonda ateere obwangu mw'abo abakyali e Saudi Arabia okumaliriza emikolo obulungi n'okudda ku butaka emirembe.
" Nga tufundikira empagi enkulu ennyo mu ddiini y'Ekiyisiraamu Iddi Adhuha ey'okusala ebisolo, tukulisa bannaffe ab'enzikkiriza eno okuyita obulungi mu mwezi guno omutukuvu". Kabaka bwe yagambye mu bubaka bwe.
http://www.bukedde.co.ug/bukedde/buganda/1460820/kabaka-ayagalizza-abasiraamu-iddi