top of page

Katikkiro ayongedde okulambulula ku nsonga z'ettaka mu lukiiko lwa Buganda

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asinzidde mu lutuula lw’Olukiiko lwa Buganda olusooka e Bulange- Mmengo olunaku lwa leero n'alabula aba famire ya Ssekabaka Daudi Chwa II abakayanira ettaka ly’Obwakabaka n'ategeeza nti Obwakabaka tebulina muntu gwe bugenda kuganya kutwala ttaka lyabwo.

Mayiga agambye nti ennaku zino waliwo abantu bangi abefunyiridde okutwala ettaka ly’Obwakabaka nga baligattika n'eryo erya Ssekabaka Daudi Chwa II era wetwogerera ng’emisango egisukka 40 giri eyo mu kkooti.

Ensonga y’okuwaabira Kabaka yeralikiriza abantu ba Kabaka naye bwebawabira Kabaka wa Buganda, babeera bawabidde Obwakabaka okutwalira awamu n’e Bungereza, Kwiini baamuwaabirako

Amateeka bwe gatyo bwe gali nti obwetengereze bwaffe mu mateeka buli mu linnya Kabaka wa Buganda era Ssabawolereza agenda kwogera ku nsonga eno. Abakiise bonna nga basirise bawuliriza, Mayiga alambuludde n'agamba nti Endagaano ya 1900 yeyaleeta enkola ya mayiro era mayiro 350 z'ategekebwa nga za Nkuluze, Kabaka abeera ku Nnamulondo yazikuma si za bwannanyinni.

Daudi Chwa II naye yagabana ettaka lye ng’omuntu n'aligabira abaana be naleekawo mayiro 27 zeyagamba nti ziriweebwa abaana abo abalizaalibwa ng’ekiramo kikoleddwa,teyakwata ku 350, Mutabani we Muteesa II teyakwata ku ttaka lino ate Muzzukkulu we Kabaka Mutebi II kakati yalikuuma.

Ng’akangudde ku ddoboozi Mayiga yayongedde nagamba nti “Amateeka amalala agayisibwa nga 1908, 1919, ssemateeka wa 1967 n’amalala agaddirira emitawaana gya 1966 ettaka lino galitwala era etteeka lya 1993 eryaza ebimu ku byaffe ne Ssemateeka wa 1995 n’endagaano Kabaka gyeyakola ne Pulezidenti mu 2013 essira galiteeka ku ttaka entongole ery’Obwakabaka. Ettaka lya Ssekabaka Daudi Chwa II tewali weriyingirramu kubanga gavumenti teritwalanga wadde eya Obote.

KJaKatikkiro Charles Peter Mayiga ngayogera mu lukiiko

Abo abalikayanira bakikola mu bukyamu. Kyokka waliwo ekkobane erikolebwa abantu abamu abeefula nti bamanyi enjawulo wakati w’ettaka lya Chwa neerya Buganda. Tewabeerawo abalimba nti tugenda kubanyaga.

Balowooza tuli awo, anti akalinabiri…Tetugenda kubaganya.” Bino webijjidde ng’abamu ku bazzukkulu ba Chwa II bavaayo nebawakkanya enkolagana ya Buganda Land Board ne UNRA ku ttaka erisangibwa ku bbuloka 273 e Masajja nga UNRA eyagala okuyisawo oluguudo nekibeera nga UNRA erina okusasula BLB ensimbi eziri mu buwumbi.

http://www.bukedde.co.ug/bukedde/amawulire/1460242/katikkiro-ayongedde-okulambulula-ku-nsonga-zettaka-mu-lukiiko-lwa-buganda


Featured Posts
Recent Posts
Archive
Search By Tags
Follow Us
  • Facebook Basic Square
bottom of page