Ssaabasajja Kabaka agenda alambula ebifo ebyenjawulo mu Ssaza ly'Ekyadondo ku nkola eya BulungiB
Olunaku lwa leero n'enkya, Ssaabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi ajjakulambula Essaza ly'Ekyadondo. Leero ayugumizza akatale ka St. Balikudembe olweggulo lwaleero bwabadde ku mukolo gwa BulungiBwansi.
Asiimye nyo abategesi n'abaddukanya akatale olw'entekateeka enungi ela nabasuubiza okukomawo okubalambulako nga akatale akapya kamazze okuzimbibwa.
Kabaka asiimye nalambula amaka amalungi aga Mukyala Faith Kaggwa e Buziga mu Kyadondo ku mikolo egy'okwetekatekera entikko ya BulungiBwansi olunaku lwenkya ku ssomero lya Old Kampala.
Wano, alambudde enimiro ela nasimba omuti.